Amawulire

Poliisi e Mityana afulumizza amannya g’abalumizibbwa mu kabenje

Poliisi e Mityana afulumizza amannya g’abalumizibbwa mu kabenje

Ivan Ssenabulya

April 25th, 2023

No comments

Babra Nalweyiso. Poliisi e Mityana efulumizza olukalala lw’amannya g’abantu abalumiziddwa mu kabenje akaagudde e Mityana akawungeezi ak’olunaku olwa ggyo.
Wabula amannya g’omukyaala eyafiiridde mu kabenje n’okutuusa kati tegannafunika wadde okufunikako ababe omulambo gwe olw’obutasangibwako katu konna kamwogerako.
Akabenje kano kagudde ku kyaalo Kikumbi kilo metre nga 2 okuva mu kibuga Mityana, motoka ya drone taxi UBH 141 W bweyayabise omupiira neva ku kkubo neyelindiggula ekigwo bweyabadde eva e Fortportal okwolekera Kampala.
Akabenje kano kaalese ng’omuntu omu mufu ate abalala 5 nga balumizibbwa nga tasiibewo tasulewo yali ku mumwa.
Abalumiziddwa kuliko Martin Musomero (28) nga mutuuze w’e Kyaka, Sunlight Isingoma (32) yye mutuuze w’e Kibale, Godfrey Katalemwa (29) mutuuze w’e Kyengera wano mu Kampala gattako Sheila Nakato (22) nga naye w’e Bulenga saako ne Rosemary Ndagire (37) ow’e Makindye.
Racheal Kawala nga yayogerera Poliisi mu bitundu bya Wamala ebitwala ne Mityana agamba nti dereeva wa motoka eno negyebuli eno tannamayikako mayitire nga kilowoozebwa olwasumattuse akabenje yye nabinyikka mu nsuwa