Amawulire

Poliisi e Masaka ekutte Omusajja abadde akozesa Muwalawe námuzaalamu na Balongo

Poliisi e Masaka ekutte Omusajja abadde akozesa Muwalawe námuzaalamu na Balongo

Ivan Ssenabulya

July 15th, 2023

No comments

Bya Getrude Mutyaba,

Poliisi e Bukomansimbi ekutte omusajja ow’emyaka 36 lwa kukozesanga muwalawe we mu mukwano ow’emyaka 16 omulema námufunyisa n’olubuto.

Omusajja ono Kaggwensonyi ategerekese nga Joseph Katongole omutuuze ku kyalo Gongwe, mu town council y’e Kigangazi mu disitulikiti y’e Bukomansimbi.

Katongole yakwatiddwa ne mukyala we Beatrice Nakintu 30, olw’obutaloopa nsonga eno.

Okusinziira ku muwala ono, kitaawe yatandika okumusobyako nga wa myaka 14 okutuusa omwaka oguwedde lwe yamufunyisa olubuto n’amugoba awaka.

Omuwala ono teyesobola alina obulemu ku mikono gyombi.

Omumyuka wa RDC w’e Bukomansimbi atadde taata w’omuwala omulimu annyonnyole lwaki yeberekanga ku muwala we kyokka Katongole n’agezaako okwegaana okutuusa lwe yakkiriza nti yasula naye omulundi gumu emyezi 12 egiyise.

Kalema avumiridde ebikolwa bya bataata abasaanyaawo obulamu bwa bawala baabwe.

Omwogezi wa poliisi mu bugwanjuba Twaha Kasirye agamba nti omusajja ono ne mukyala we bagenda kuvunaanibwa okusinziira ku nsonga eno.

Ababiri bano bali ku poliisi y’e Bukomansimbi ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.