Amawulire

Poliisi e Masaka ekutte abalala 3 ku byókutta Famile yábantu 5

Poliisi e Masaka ekutte abalala 3 ku byókutta Famile yábantu 5

Ivan Ssenabulya

July 3rd, 2023

No comments

Bya Getrude Mutyaba,

Poliisi e Masaka eriko abantu abalala 3 bekutte ku ttemu eryakolebwa ku bantu bataano nga bonna banjo emu.

Nga 24 June,  Emmanuel Muteesasira, ne mukyalawe, Proscovia Ndagaano, ne Beatrice Nakalyango muwala wabwe nábazzukulu baabwe babiri okuli Shivan Nakasagga ne Robert Kayemba batemulwa kukyalo Kijonjo mugombolola ye  Buwunga e Masaka.

Kati poliisi egamba ekutte Noeline Nassiwa, 18 omutuuze wé Kalugondo nga ssemaka yali amuyita kojja, abalala abakwatibwa kuliko Dan Ssekajigo, 30 and Fulgensio Namugera, 40 nga bonna batuuze e Kijonjo.

Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya maserengeta Twaha Kasirye, atubuulidde nti okunonyereza okusooka kulaga nti abasatu bano balina akakwate mu kutta abagenzi.

Bano bagasse ku Vincent Samula eyasooka okukwatibwa nagulwako ogwobutemu.

Poliisi ezudde nti abakwate baalina obutakanya ne ssemaka nga bamulumiriza nti yatta nyabwe eyali mwanyina era nga baalarika naye okumutta.

Kigambibwa nti maama wa bakwate yayokya esabo lya Mutesaasira oluvanyuma yatandika okubogora ngémbwa ekyamuvirako okufa.

Abaana ne bawera okutta Kojjaabwe nnyini sabo