Amawulire

Poliisi e Luuka ekutte 2 ku byókutta omuvuzi wa Booda

Poliisi e Luuka ekutte 2 ku byókutta omuvuzi wa Booda

Ivan Ssenabulya

January 4th, 2023

No comments

Bya Abubaker Kirunda,

Poliisi mu disitulikiti y’e Luuka eriko abantu 2 begombyemu obwala ku bigambibwa nti benyigidde mu kutemula omuvuzi wa boda boda ne batwala ne pikipiki ye.

Omubaka wa gavumenti atuula mu disitulikiti y’e Luuka, Samuel Musiwa ategeezezza nti abakwatiddwa bagiddwa mu Kampala gye baasangiddwa ne pikipiki y’omugenzi.

RDC agamba nti abakwate bateeberezebwa okuba bebenyigidde mu kutemula omugenzi William Bamwange omuvuzi wa boda boda ku siteegi y’e Bukendi gombolola y’e Bukanga e Luuka.

Musiwa agamba nti abakwate bano balumbye omugenzi okuva mu lutobazzi olwawudde Busalamu ku kyalo Kiroba ne batwala pikipiki ye nnamba UFQ 340L.

Oluvannyuma lw’okumutta omulambo gwe bagupakira mu kutiya ne gusuulibwa mu nnimiro y’omuwemba noluvanyuma ne bakubira aboluganda lwomugenzi nga beeyambisa esimu ye.