Amawulire

Poliisi e Kassanda etandise okunonyereza ku Mukazi eyakubiddwa amasasi

Poliisi e Kassanda etandise okunonyereza ku Mukazi eyakubiddwa amasasi

Ivan Ssenabulya

June 14th, 2023

No comments

Bya Barbara Nalweyiso,

Poliisi e Kassanda etandise okunonyereza kutemu eryakolebwa ku mukazi ategerekese nga Kisangani Jolesi wa myaka 35.

Omukazi ono yakubiddwa masasi agamugye mu budde ku kyalo Katuugo.

Omwogezi wa poliisi mu bitundu bye Wamala, Racheal Kawala, akakasiza ettemu lino era agamba okunonyereza okusoose kulaga nti yalumbiddwa mu bbaala mweyabadde akolera ne bamukanda ensimbi zeyabadde talina kwekumukuba amasasi agamusse.