Amawulire

Poliisi e Kamuli ewenja abazigu ababbye obukadde 30

Poliisi e Kamuli ewenja abazigu ababbye obukadde 30

Ivan Ssenabulya

August 18th, 2021

No comments

Bya Abubaker Kirunda, 

Polisi mu disitulikiti ye Kamuli ebakanye nomuyiggo ku bazigu, abanyaguludde obukadde 30 ku mudumu gwemmundu.

Omwogezi wa poliisi mu Busoga North, Michael Kasadha agambye nti abazigu bano baliko omusubuzi owerinnya gwebateeze mu mmotoka nebamubbako ssente zino.

Obubbi buno bwabadde mu munisipaali ye Kamuli, nga basose kuwnadaza masasai mu bbanga.

Gambye nti omuyiggo wamu nokunonyereza kugenda mu maaso.

Ate omusajja, akubiddwa embooto 20 lwakubba mbizzi.

Bino bibadde mu disitulikiti ye Bugiri, gwebakubye ye Ben Ouma nga mutuuze ku kyalo Masongola mu munisipaali ye Bugiri.

Baamukutte, kooti yekyalo netuula omusango gwokubba embizzi ya Christopher Were ku kyalo Butakanira negumusinga.

Kooti yekyalo ebadde ekubirizibwa ssentebbe Falidi Mugoya, yemusingisizza omusango era nekiboinerzo nekimuweebwa.

Bamulagidde asasule asasule engasi yamitwalo 5 bwezimulema akubwe embooko 20.