Amawulire

Poliisi e Kamuli ekubye omukka ogubalagala mu batuuze okutaasa agambibwa okuba omubbi

Poliisi e Kamuli ekubye omukka ogubalagala mu batuuze okutaasa agambibwa okuba omubbi

Ivan Ssenabulya

February 27th, 2023

No comments

Bya Abubaker Kirunda,

Poliisi mu town council y’e Kasambira e Kamuli ekubye ttiyaggaasi okutaasa omusajja ateeberezebwa okutta muliraanwa abatuuze ababadde bataamye obugo gwebayikidde okwagala okumugajambula.

Omwogezi wa poliisi mu busoga north Michael Kasadha ategeezezza nti abatuuze basoose kukuma omuliro mu maka g’omutemu.

Ono agamba nti agambye nti poliisi esobodde nokuzikiriza omuliro abatuuze gwe babadde bakumye ku makage.

Abatuuze okutaama kidiridde omuzimu okulinnya nnamwandu ku mutwe negukulembera abatuuze okutuuka mu lutobazi omugenzi gweyasuulibwa negwogera ne linnya lyagambibwa okutta omugenzi.

Wabula poliisi evumiridde embeera eya batuuze kwagala okutwalira amateeka mungalo.