Amawulire

Poliisi e Jinja ekutte bannansi ba Eritrea 20 lwakuyingira ggwanga mu bukyamu

Poliisi e Jinja ekutte bannansi ba Eritrea 20 lwakuyingira ggwanga mu bukyamu

Ivan Ssenabulya

August 28th, 2023

No comments

Bya Abubaker Kirunda,

Poliisi mu kibuga kyé Jinja ekutte bannansi ba Eritrea amakumi abiri ku lutindo lwa New Nile Bridge nga bagambibwa okuyingira eggwanga mu bukyamu.

Omwogezi wa poliisi mu bitundu by’e Kiira James Mubi agamba nti abakwate bagambibwa okusala okuyingira eggwanga nga bayita ku nsalo y’e Busia era babadde batambulira mu takisi Reg No UBJ 751V.

Mubi agamba nti bano bwe baakunyiziddwa, nga kuli n’abaana mukaaga baazudde nti babadde bagezaako okutuuka mu kibuga Kampala okwegatta ku bannaabwe abali e Kabalaga.

Ayongerako nti kino kye kibinja eky’okubiri eky’Abaeritrea okukwatibwa olw’okuyingira mu ggwanga mu ngeri emenya amateeka.

Ekirala kyakwatibwa mu 2021 oluvannyuma lw’okubula mu wooteeri oluvannyuma lw’okwetaba mu mizannyo gy’omupiira.