Amawulire

Poliisi e ekutte basatu ku byókukabasanya omwana

Poliisi e ekutte basatu ku byókukabasanya omwana

Ivan Ssenabulya

May 14th, 2022

No comments

Bya Abubaker Kirunda,

Poliisi mu disitulikiti yé Luuka eriko abantu basatu bekutte ku bigambibwa nti bakakanye ku mwana owe’myaka 3 ne bamugajambula obumuli.

Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Busoga north Michael Kasadha, atubuulidde nti abakwate omwana bamusangiriza ku kkubo ne bamusobyako.

Ono agamba nti bazadde bomwana basobodde okuzula ebyamutuuseko oluvanyuma lwokudda eka nga akaaba bwebamukebedde ne bakiuula nti yasobezedwako.

Kasadha agambye nti abakwatibwa bakuyambako mu kunonyereza.

Wabula asabye abazadde bulijjo okufaayo okukuuma abaana babwe okwewala okugwa ku bibamba.