Amawulire

Police etereddwa kuninga ku by’okutta n’okuwamba abantu.

Ivan Ssenabulya

May 15th, 2018

No comments

Bya Kyeyune Moses.

Ababaka abatuuka ku kakiiko akakola ku dembe ly’obuntu batadde police kuninga nga baagala enyonyola ensonga lwaki okutta abantu kweyongedde mu gwanga kyoka nga mpaawo kyamaanyi kikolebwa.

Leero police nga ekulembedwamu minisita  omubeezi akola ku nsonga z’omunda mu gwanga Obiga Kania ko ne ssabapolice  Martin Okoth-Ochola  balabiseeko mu kakiiko kano okubaako byebataanya ku nsongga z’ebyokwerinda.

Kati amyuka ssentebe w’akakiiko kano Safia Nalule atadde abakulu bano ku ninga nga ayagala bamutegeeza lwaki buli kadde abawamba n’okutta beyongera, kyoka nga mpaawo akwatibwa.

Mukwanukula aduumira police ye gwanga Ochola agambye nti buli kisoboka kikolebwa okutuula abatemu bano ku nfeeta.