Amawulire

PLE- ebigezo 1,344 bikwatiddwa, abalenzi bakubye abawala

Ali Mivule

January 15th, 2015

No comments

PLE results out

Ebyava mu bigezo by’ekibiina ky’omusanvu eby’omwaka oguwedde bufulumiziddwa nga biraga nti abayizi baakoze bulungi okusingako ate omwaka gwa 2013.

Abayizi abawerera ddala 60,956 bayitidde mu ddaala erisooka, 253,546 babadde mu ddaala lya kubiri, 127,350 babadde mu ddaala lya kusatu,  475,009 mu ddaala ly’okuna abayizi 68,759 bagudde.

Abayizi baasinze kukola ssomo lya SST ate Oluzungu lwelwasinze okukolebwa obubi.

Wakiso ye disitulikiti esinze okukola obulungi nekuddako kampala ate nga Bukwo, , Bulambuli, Luwuka ne Kwen zeezimu ku zisinze okukola obubi.

Disitulikiti eziri mu kibuga zikoze bulungi okusinga eziri mu byaalo ate nga municipaali ezikoze obulungi kuliko Fort portal, Entebbe, Mbarara, ne Rukungiri.

Abayizi 1,344 ebigezo byaabwe bikwatiddwa lwakubba bigezo era ng’abayizi kizuuliddwa nti baayambibwaako, ate abamu ebigezo ssibeebabikola.

Agamu ku masomero agakoseddwa kuliko Kiteezi Church of Uganda, Ganda public primary, Kyambogo mixed primary, Alshadiq Islamic school ne Jinja parents Kagoma mu disitulikiti ye Jinja