Amawulire

Panda gaali yandikomawo- bakugu

Panda gaali yandikomawo- bakugu

Ali Mivule

January 13th, 2016

No comments

File Photo: Police nga ekwata no kukuba tiyagasi mu abekalakasi

File Photo: Police nga ekwata no kukuba tiyagasi mu abekalakasi

Abalondoola ensonga z’ebyobufuzi mu ggwanga bategeezezza nti enkola y’okuwamba abantu ekomyeewo.

Kiddiridde okuwambibwa kw’eyali akulira ba Kanyama ba Amama Mbabazi  Christopher Aine

Kakensa Joel Onyango Oloka agamba nti okukwatibwa kwa Aine buli omu kw’ataddeko amaaso naye ng’abantu bangi bayinza okuba nga bawambibwa nebabuzibwaawo.

Ono era agamba nti akalulu k’omwezi ogujja omuntu tasobola kuba mukakafu nti kaggya kutambula bulungi ng’ensonga nga zino tezinnaba kuddibwaamu.

Anyonyodde nti kino kissaawo ebibuuzo bingi ku biseera by’eggwanga eby’omu maaso ng’ebibinja ebitigomya abantu bizzeemu ate nga byerimbika mu kukolera poliisi.

Ono abadde ayogera ku katabo akakoleddwa ku kalulu k’omwaka 2016 nga kooleka ekiyinza okubeerawo mu kulonda ne ng’akalulu kawedde.