Amawulire

Palamenti yakukungubagira Nnabakyala wa Bungereza

Palamenti yakukungubagira Nnabakyala wa Bungereza

Ivan Ssenabulya

September 13th, 2022

No comments

Bya Damali Mukhaye ne Prossy Kisakye

Palamenti ya Uganda egenda kuwaayo olunaku lwokukubaganya ebirowoozo ku mugenzi Nnabagereka wa Bungereza Elizabeth owookubiri.

Bino byogeddwa amyuka sipiika wa palamenti Thomas Tayebwa bwabadde akubiriza olutuula lwa leero.

Tayebwa yategeezezza nti Nnabakyala omugenzi abadde akulira omukago omwegatira amawanga agaaliko amatwale ga Bungereza era nga yabadde omukuumi we kibiina ekitaba palamenti za mawanga agali common wealth

Agamba nti Nnaabagereka alambudde kumpi palamenti zonna eziri wansi w’ekibiina kino era bwekityo palamenti ya Uganda erina okumujjukira mu ngeri ey’enjawulo.

Nnampala wa gavt, Hamso Obua, ategeezezza palamenti nti enkya ssaabaminisita wakuleeta ekiteeso kino mu palamenti okusiima Nnaabagereka.

Mungeri yeemu Tayebwa ayozaayozeza pulezidenti wa Kenya eyaakalondebwa William Ruto, olw’okutwala ofiisi esinga obunene mu ggwanga eryo era alajanidde amawanga gonna ag’obuvanjuba bwa Afrika okukoppa Kenya bwekituuka ku demokulasiya.

Mungeri yemu, Ekibiina ekivuganya gavumenti ekya Democratic Party kitenderezza omugenzi Nnabagereka wa Bungereza, Elizabeth 11 nga maama abadde ayagalwa ensi yonna.

Nnabagereka yassa omukka ogusembayo, ku Lwokuna lwa wiiki ewedde ku myaka 96.

Olubiri lw’e Birmingham lwalangiridde ennaku kkumi ez’okukungubaga kw’eggwanga nga tannaziikibwa.

Bwabadde ayogerako eri bannamawulire ku ofiisi ez’ekibiina mu Kampala, Pulezidenti w’ekibiina kya Young Youth Democrats (UYD), Ismael Kirya, agambye nti Queen Elizabeth alina omutima gwa maama si mu Bungereza wokka ne mu mawanga agaliko amatwale ga Bungereza.

ategeezezza nti nnaabagereka agenda kujjukirwa mu bavubuka ngeyakulemberamu ekiteeso eky’okutondawo olukiiko lw’abavubuka mu common wealth.