Amawulire
Palamenti yaakupangisa aw’okutuuza ababaka
Bya Prosy Kisakye
Palamenti esazeewo okubaako ekizmbe kyebapangisa, bwebagenda okutuuza abamu ku babaka mu palamnti eyomulundi ogwe 11.
Kino kibikuddwa omukubiriza wa apalemnti Rebecca Kadaga bweyabadde asisinkanye ababaka abava mu kitundu kya Bugisu ne Sebei olunnaku lwe ggulo.
Wetwogerera nga palamenti erina ebizimbe 3 okuli ekizimbe ekikulu, Development House ne Queen Chambers, nga byonna bisangibwa ku Parliament Avenue mu Kampala.
Wabula Kadaga agambye nti omulimu gwokuzimba palamenti emppya enatuuza abakiise 600 gubadde gukyalandiridde.
Kati agambye nti bagenda kupangisaayo ekizimbe, okumala emyaka 2.
Palamenti eyomulundi ogwe 11, egenda kutulamu ababaka 529 nga wabaddewo okweyongera mu muwendo gwababaka, bwogerageranya ku babaka 456 ababadde mu palamenti eye 10.