Amawulire

Palamenti eyimiriza ekivvulu kya Nyege Nyege e Jinja

Palamenti eyimiriza ekivvulu kya Nyege Nyege e Jinja

Ivan Ssenabulya

September 6th, 2022

No comments

Bya Benjamin Jumbe,

Palamenti eyimirizza ekivvulu kya Nyege Nyege, ekitegekebwa buli mwaka mu disitulikiti ye Jinja nga kibadde kyakubeerawo mu ssabiiti ejja.

Kino kiddiridde okweraliikirira okuleeteddwa omubaka omukyala okuva mu disitulikiti yé Tororo Sarah Opendi ng’agamba nti omukolo guno guzaala ebikolwa eby’obugwenyufu.

Ye omubaka wa Bugabula south, Henry Kibalya ayongeddeko nti eggwanga terisaana kuva kubuwangwa olwa tikiti ezigambibwa okuba nti zaatundibwa dda eri abagenda okwetaba ku kivvulu oluvannyuma lwa minisita ow’ebyobulambuzi Martin Mugarra okutegeeza palamenti nti abagwira nga 8000 be baasasudde dda okwetaba ku mukolo guno

Ne Sipiika wa palamenti, Anita Among agamba nti omukolo guno tegugenda kukkirizibwa kubeerawo bwekiba nti kudyabaga empisa z’eggwanga

Emabegako minisita avunaanyizibwa ku mpisa n’obwesimbu Rose Lilly Akello yali ategeezezza palamenti nti ddala ekitongole ekivunaanyizibwa ku mpisa n’obwesimbu kyateekawo obukwakkulizo obulina okutuukirizibwa abategesi nga omukolo tegunnakkirizibwa.

Mu bino mwalimu obutakkiriza baana abali wansi w’emyaka 18 kubeerayo, obutabawo muntu yenna agenda bukunya ku mukolo guno, n’obutabawo  muntu yenna yenyigira mu bikolwa eby’okwegadanga mu kiseera ky’omukolo.