Amawulire

Palamenti eyagala abakuuma ddembe nábalina emmundu bekebejebwe Obwongo

Palamenti eyagala abakuuma ddembe nábalina emmundu bekebejebwe Obwongo

Ivan Ssenabulya

May 23rd, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ssentebe w’akakiiko ka Palamenti akéby’obulamu ku bwongo bwantu, Geoffrey Macho asabye gavumenti buli luvannyuma lwa myezi esatu wabeewo okukeberebwa kw’ab’ebyokwerinda n’abantu bonna ssekinnoomu abalina emmundu.

Okwogera bino kiddiridde effujjo ly’emmundu erigenda mu maaso mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo nga lino liviriddeko bannayuganda abawerako okuli ne minisita Engola okuttibwa ate abalala ne balumizibwa.

Macho agamba nti kino kiyinza okuba nga kivudde ku mitwe gyábantu okuba nga giriko ekikyamu songa tewali amanyi kuba tewali kubekebejja.

Okwogera bino abadde mu kuggulawo omwezi ogw’okumanyisa abantu ku by’obulamu byóbwongo ogwategekeddwa akakiiko ka Palamenti aka Mental Health n’ebibiina by’obwannakyewa ebirala mu kulwanyisa obulwadde bw’obwongo ku palamenti.