Amawulire

Palamenti etadde Gavt kunninga ku byókugula amasomero

Palamenti etadde Gavt kunninga ku byókugula amasomero

Ivan Ssenabulya

September 2nd, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya,

Palamenti ewadde minisitule eye byenjigiriza ne byemizannyo ennaku 7 eveeyo ntekateeka kukyokugula amasomero mu ggwanga.

Amyuka sipiika Anitah Among atadde minisita we byenjigiriza ebyawaggulu John Chryzstom Muyingo aveeyo mangu kunsonga eno.

Kino kidiridde omubaka wa Kiira municipality mu Palamenti Ibrahim Ssemuju Nganda okwemulugunya kukya bayizi mu International Schools okusigala nga basomesa ate amasomero amalala nga maggale.

Gye buvudeko minisitule eye byenjigiriza yategezeza nga ebyokugulawo amasomero mu bbanga lya ssabiiti 2 bwetabimanyiko.