Amawulire

Palamenti esindikibwa mu Luwummula enonyereza kunsimbi za PDM

Palamenti esindikibwa mu Luwummula enonyereza kunsimbi za PDM

Ivan Ssenabulya

February 2nd, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Sipiika wa palamenti Anita Among asindise ababaka ba palamenti mu luwummula lwa wiiki bbiri okwekenneenya enkola y’ensimbi za Parish Development Model-PDM.

Kino kiddiridde gavumenti okusaasaanya akatabalika kamu nobuwumbi 49 mu nteekateeka eno ey’okuyamba emiruka 1594 okwetoloola eggwanga mu kaweefube wa gavumenti okukendeeza obwavu mu maka.

Okusinziira ku bbaluwa ya sipiika eyasomeddwa omumyuka we Thomas Tayebwa mu lukiiko lwa leero, palamenti yawandiikira dda minisitule y’ebyensimbi okweyambisa ebiwandiiko byonna ebikwata ku nsimbi zino okuyambako mu kunoonyereza kw’ababaka.

Era awadde ababaka ba Palamenti omulimu gw’okukozesa obukodyo bwe bumu obwakozesebwa nga banoonyereza ku nsimbi ze Emyooga okuzuula abaganyuddwa mu nteekateeka eno

Tayebwa finance Eng

Okusinziira ku lipoota y’omubalirizi w’ebitabo bya gavumenti mu mwaka gw’ebyensimbi 2021/22, SACCO 8,703 zaafuna ssente ez’enjawulo okuva ku shs2.3M okutuuka ku shs17.8M.

Era kiraga nti SACCO 1,502 mu gavumenti z’Ebitundu eziwera 70 tezaafuna nsimbi zonna.