Amawulire

Palamenti esiimye omugenzi Henry Kyemba

Palamenti esiimye omugenzi Henry Kyemba

Ivan Ssenabulya

October 24th, 2023

No comments

Bya Kevin Githuku ne Prossy Kisakye,

Palamenti akawungeezi ka leero etuuzizza olutuula olw’enjawulo okussa ekitiibwa mu eyali minisita Henry Kyemba.

Omumyuka wa Sipiika wa Palamenti Thomas yakulembedde Palamenti okusiima omugenzi Kyemba, n’amwogerako ng’omusajja eyaweereza eggwanga lye n’obunyiikivu obw’ekitalo, n’okumwebaza okuwaayo obudde okuteeka ebyafaayo bya Uganda mu kitabo kye – “Embeera y’Omusaayi”

Mungeri y’emu omumyuka wa ssaabaminisita asooka, Rebecca Kadaga akulembedde Gavumenti okusiima omugenzi Kyemba ng’amwogeddeko ng’omuwagizi omunywevu era eyatumbula demokulasiya, enfuga ennungi, emirembe eri bonna era nnantameggwa w’okunyweza enzirukanya y’emirimu gya gavumenti.

Omukulembeze w’oludda oluvuganya gavumenti Mathias Mpuuga asabye abakulembeze abaliwo kati okukoppa obulamu obwekiweereza ekirungi omugenzi Henry Kyemba bweyayolesa mu bulamu bwe.

Mpuuga agamba nti tekitera kubaawo okusanga omukulembeze ow’empisa ez’ekika ekya waggulu, omwesimbu, akwatagana ne bannabyabufuzi bonna.

Kyemba yafudde endwadde ya ssukaali nga 18th omwezi guno nga aweza egyobukulu 84