Amawulire

Palamenti esabye Minisita aleete alipoota ku Masanyalaze agavavaako mu ggwanga

Palamenti esabye Minisita aleete alipoota ku Masanyalaze agavavaako mu ggwanga

Ivan Ssenabulya

December 2nd, 2022

No comments

Bya Rita Kemigisa,

Palamenti esabye Minisita w’amasannyalaze n’eby’obugagga eby’omu ttaka mu ssabiiti ejja ayanjule ekiwandiiko ekijjuvu ku kuvaako kw’amasannyalaze okuli mu ggwanga awatali kulemererwa.

Wabaddewo okuvavaako kw’amasannyalaze okutaggwa mu ggwanga ng’amasannyalaze gavuddeko mu ggwanga lyonna mu kiro ekyakeesa olunaku olwokusatu.

Songa mu bitundu bya Kampala eby’enjawulo enkeera era amasannyalaze gavaako.

Bweyabadde ayanjula ensonga ye mu ssetteserezo wa palamenti akawungeezi akayise, omubaka wa munisipaali y’e Busia Geofrey Macho, agambye nti bizinensi eziwerako mu kitundu kye zikoseddwa olw’amasannyalaze okuvaako obutasalako.