Amawulire

Palamenti erimu kukuba kalulu ku bbago lyétteeka kubisiyaga

Palamenti erimu kukuba kalulu ku bbago lyétteeka kubisiyaga

Ivan Ssenabulya

March 21st, 2023

No comments

Bya Juliet Nalwooga ne prossy Kisakye,

Palamenti olwaleero esuubirwa okukuba akalulu ku bbago ly’etteeka erirwanyisa ebisiyaga, 2023 wakati mu birowoozo okuva mu bantu ab’enjawulo.

Sseteserezo akubyeko bugule akawungeezi ka leero wakati mu kusoma ebbago lino erirwanyisa ebisiyaga omulundi ogw’okubiri eryakolebbwa omubaka Asuman Basarilwa, owa munisipaali y’e Bugiri ayanjudde alipoota eno.

Alipoota esookerwako ewadde amagezi nti ebbago lino liyisibwa.

Pulezidenti w’ekibiina ekivuganya gavumenti ekya Democratic Party era nga ye minisita w’ebyamateeka Nobert Mao, asabye bannayuganda okugaana enkola y’ebisiyaga okusobola okulwanirira obuwangwa bwa Africa.

Bino abyogedde bwabadde ayogerako eri bannamawulire ku ofiisi z’ekibiina mu Kampala akawungeezi ka leero. Mao ategeezezza nti Abafirika balina obulamu bwabwe obulina okukuumibwa kubanga bubakoledde emirembe mingi.

Agambye nti buvunaanyizibwa bwa buli muntu okuvumirira ebikolwa by’ebisiyaga n’okutaasa omulembe omuto ogw’omu maaso.

Aweze obutakkiriza muntu yenna asangibwa ng’asendasenda abavubuka mu bikolwa bino obutabonerezebwa.

Mungeri yeemu Mao asabye bannansi obutamala biseera bingi nga bakubaganya ebirowoozo ku bisiyaga kyokka ng’eggwanga lirina ebizibu bingi era n’asaba palamenti okwanguya okuyisa ebbago ly’etteeka erirwanyisa ebisiyaga erya 2023 kitaase eggwanga.