Amawulire

Palamenti eragidde minisita Nyombi Thembo azzeeko Tv z`abantu

Palamenti eragidde minisita Nyombi Thembo azzeeko Tv z`abantu

rmuyimba

June 19th, 2015

No comments

Palamenti eragidde minisita omubeezi ow’ensonga za tekinologiya Nyombi Thembo aveeyo n’okunyonyola ku nteekateeka y’okusesetuka okuva ku nkola ya analog okudda ku digito nga muno tv z’abantu abamu zagyiddwako dda.

 

Omukubiriza w’olukiiko lw’eggwanga olukulu Rebecca Kadaga y’awadde ekiragiro kino oluvanyuma lw’abamu ku babaka ba palamenti okwemulugunya nti minisitule eno yapapye okugyako TV zabannayuganda nga tebatunulidde banaku abatasobola kugula zi dikooda.

 

Kino kyawalirizza nampala w’oludda oluvuganya gavumenti era omubaka w’abakyala e Dikolo Cecilia Ogwal okuleeta ekiteeso gavumenti ezzeko mangu TV zabannayuganda kubanga bangi tebanafuna dikooda zibasobozesa kulaba TV .

 

Nsalaesale w’okudda ku digito mu nsi yonna okudda kun kola ya digito y’aweddeko nga 17 omwezi guno.