Amawulire

Palamenti ekunyizza Musisi

Ali Mivule

January 23rd, 2014

No comments

Musisi sweats

AKulira abakozi mu kampala, Jennifer Musisi awakanyizza ebigambibwa nti abakozi mu kitongole ky’akulira babayisa manju okutuuka mu mirimu gyebalimu.

Ono abadde mu kakiiko ka palamenti akabalirira ensimbi z’omuwi w’omusolo akali mu kunonyereza ku mivuyo mu KCCA.

Ababaka abatuula ku kakiiko kano bagamba nti okuyingiza abantu mu KCCA tekikolebwa ku lwa busobozi wabula byafuuka bya mwana waani

Jennifer Musisi agambye nti bagoberera mateeka era n’asaba ababyogera okuleeta obujuzli

Bino bigenze okubaawo nga loodimeeya Erias Lukwago yakasaba ababaka abatuula ku kakiiko akanonyereza ku KCCA okukola omulimu awatali kyekubiira

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *