Amawulire

Palamenti ekungubagidde Gen Tumwine

Palamenti ekungubagidde Gen Tumwine

Ivan Ssenabulya

August 25th, 2022

No comments

Bya Rita Kemigisa,

Palamenti ekungubagidde abadde minisita owebyokwerinda, Gen Elly Tumwine, eyafudde ku makya ga leero e Nairobi mu ggwanga erya Kenya.

Minisita w’ebyokwerinda, Jim Muhwezi ategeezezza ababaka ba palamenti nti enteekateeka zitandise okuzza omulambo gwa Gen Tumwine nóluvanyuma bayise pulogulamu eyo okuziika mu bbanga ttono.

Omubaka wa munisipaali y’e Kira Ibrahim Ssemuju akozesezza omukisa gwokukungubagira omugenzi nasaba gavumenti okutangaaza kwani alina okuziikibwa mu bitiibwa bya gavumenti.

Mu kwanukula, omumyuka wa sipiika Thomas Taybwa awadde ababaka amagezi okwebuuza ku bakubiriza basobole okuvaayo ne ekiteeso kwani alina okuziikibwa mu bitiibwa bye ggwanga.