Amawulire

Palamenti ekungubagidde abafiiridde mu bubenje mu nnaku enkulu

Palamenti ekungubagidde abafiiridde mu bubenje mu nnaku enkulu

Ivan Ssenabulya

January 6th, 2023

No comments

Bya Rita Kemigisa,

Palamenti akawungeezi ka leero ekungubagidde Bannayuganda abafiiridde mu bubenje bwóku nguudo mu biseera by’ennaku enkulu.

Ng’akubiriza olutuula lwa leero omumyuka wa sipiika Thomas Tayebwa asabye ababaka bonna okusirikiriramu wakati mu kukkungubagira abagenzi.

Era alagidde Minisita w’emirimu n’entambula okwanjula alipoota enzijuvu ku bubenje obuzze bubaawo mu ggwanga mu bbanga lya wiiki bbiri.

Tayebwa alaze obweraliikirivu nti singa ensonga yóbubenje tenogerwa ddagala abantu bangi abagenda okwongera okufa

Asabye nábatwala ekibuga kampala okukola ku binnya ebiri mu nguudo zomu kibuga kuba nabyo bivaako obubenje.