Amawulire

Palamenti egenda kukungubagira Mutebile

Palamenti egenda kukungubagira Mutebile

Ivan Ssenabulya

January 27th, 2022

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Palamenti egenda kutuula olwaleero, mu lutuula olwenjawulo okukungubagira abadde gavana wa Bank Enkulu, Prof Emmanuel Tumusiime Mutebile.

Omubiri gwomugenzi gugenda kuletebwa ababaka okugukubako eriiso evvanyuma, okukubaganya ebirowoozo nga basiima emirimu amakula gyakoledde egwanga.

Prof Mutebile yafudde ku Sunday mu gandalo erya sabiiti, mu ddwaliro lya Nairobi Hospital mu gwanga lya Kenya gyabadde janajabirwa ebirwadde bya ssukaali.

Omulambo gwakomezeddwawo mu gwangta, ngolumbe lwakumiddwa mu maka g’e Kololo.

Kakati kalaani wa palamenti Adolf Mwesige akakasizza nti olutuula lugenda kutandika ku ssaawa 4 ezokumakya.

Okusinziira ku minisita wamawulire Dr Chris Baryomunsi, omugenzi Mutebile agenda kuweebwa okuziika okutongole okwa gavumenti, nga waakuzikibwa ku Bbalaza ku butaka mu disitulikit ye Kabale.