Amawulire

Palamenti edamu okutuula leero.

Palamenti edamu okutuula leero.

Ivan Ssenabulya

September 4th, 2018

No comments

Bya Ben Jumbe.

Olunaku olwaleero parliment lwegenda okuddamu okutuula, oluvanyuma lwa amyuka speaker Jacob Oulanyah okugisindika mu luwumula sabiiti ewedde nga bwebalinda okwanukulwa okuva mu baluuwa sipiika gyeyawandiikira omukulembeze we gwanga.

Mubaluwa eno SipiikaRebecca Kadaga yali ayagala pulezidenti abategeeza ani yakuba ababaka ba palamenti  mu kulonda kwa Arua, wabula nga nakaakano tekinamanyika oba Sipiika yayanukudde ku nsonga eno.

Ababaka abaakubwa , era abaavako emitawaana kuliko owe Mityana Francis Zaake ne Robert kyagulanyi  owa Kyadondo East nga bano batwalidwa bweru kujanjabibwa, songa abalala kuliko Gerald Karuhanga , Paul Mwiru ne Kasiano Wadri, wamu n’eyali omubaka we Makindye Mike Mabikke.

Kati leero parliament eddamu okutuula eyongere okwetegereza ensonga zino, kko n’ebyokwerinda byegwanga bwebiyimiridde.