Amawulire

Paapa Asabidde Ukraine

Paapa Asabidde Ukraine

Ivan Ssenabulya

February 14th, 2022

No comments

Bya Musasai Waffe

Omulangira wa kkereziya, Paapa Francis yakulembeddemu abakristu ku kkeziya mu St. Peter’s Square okusabira egwanga lya Ukraine, mu kasirise.

Asabye anti bannabyabufuzi basaanye bekube mu mitima, okunonyanga obutebnkevu nemirembe mu kifo kyentalo

Bino webijidde nga waliwo obunkenke, amawanga gabazungu galumiriza Russia okwagala okulumba Ukraine.

Mu mmisa gyeyakulembeddemu ku St Peter’s Basilica, Paapa yalagidde abantu buli omu asirikirireko, basabire embeera eno.

Wabula ayasiimye abakulembeze abaliko kyebakoze eokulaba nti waberewo emirembe, era nasaba Maama Maria okusasira egwanga lya Ukraine obutaberawo kuyiwa musaayi.

Ruusia n’okutuusa kati yegaana, byebabalumiriza okwagala okulumba Ukraine, wakati mu butakanya obuliwo wakati wamawanga gombi.