Amawulire

Paapa akunze ku bumu

Paapa akunze ku bumu

Ali Mivule

November 30th, 2015

No comments

File Photo:Papa ngava mu Nyonyi

File Photo:Papa ngava mu Nyonyi

Paapa Francis akunze abantu mu ggwanga lya Central African Republic okulekera awo okulwana nga bekwasa eddiini

Paapa agambye nti tewali njawulo wakati wa bayisiraamu n’abakirisitu nga bonna baluganda.

Paapa ayogerako eri abakirisitu mu kibuga Bangui nga bano baddukira mu muzikiti olw’okuyiggibwa abakirisitu.

Mu kukyala kwa paapa kwonna,olugendo lwe mu Central African Republic lwelubadde lusinga obuzibu olw’entalo z’amadiini eziri mu ggwanga lino.

Paapa era olumaze n‘akulemberamu kitambiro kya mmisa era mu kibuga ekikulu Bangui.

Poliisi evuddeyo n’etegeeza nti emirembe egyabaddewo mu kukyaaza paapa gyavudde ku nkolagana wakati w’ebitongole byonna ebikuumi.

Abasirikale abawerera ddala omutwalo gumu mu enkumi bbiri beebakuuma emirembe kko n’abalambika ebidduka abawerera ddala 800.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga agambye nti bonna abassibwa ku mirimu baakola egyabaweebwa kale nga gy’emirembe egyalabikako

 

Ab’enganda z’omuyizi w’enkumba eyakooneddwa emotoka ya gavumenti eyabadde ewerekera paapa bagaala bwenkanya

Ajok John Garang nga munnansi wa South Sudan bamukoonedde ku ssaawa ya kwiini motoka ya gavumenti namba UG 1787c eyabade werekera paapa

Maama w’omugenzi ategeezezza nti mutabani we abadde mu mwaka ogusembayo ng’akola bigezo.

Abantu abalala babiri banyiga biwundu oluvanyuma lw’okufuna ebisago ebyamaanyi e Namugongo.

Damalie Wanyana  ow’emyaka 35 yazirikidde ku kisaawe e Kololo bweyabadde ayimba n’omulala ategerekese nga Paul Lukenge eyakoneddwa motoka.