Amawulire
Paapa agenze mu muzikiti
Abantu abanjawulo bakunganidde mu muzikiti omukulu mu kibuga Bangui mu ggwanga lya Central African Republic okwaniriza Paapa Francis.
Paapa y’ategezezza nga bweyabadde tayinza kuva mu ggwanga lino nga tabuuzizza ku bayisiramu abayigibwa banaabwe abakatuliki mu lutalo lw’eddiini olukwajja munda mu ggwanga lino.
Abayisiramu abasoba mu mitwalo 12 badduka mu kibuga kino nga kati 15000 bokka bebali mu kibuga kino nga era abasinga bekukuma mu muzikiti guno.