Amawulire

Ow’emyaka 50 asobezza ku muwala we

Ow’emyaka 50 asobezza ku muwala we

Ivan Ssenabulya

August 5th, 2019

No comments

Bya Abubaker Kirunda

Abatuuze mu district ye Mayuge bakutte omusajja owemyaka 50, nga kigambibwa nti abadde yegandanga ne muwala we owemyaka 22.

Omukadde ono mutuuze ku kyalo Nabukalu A mu gombolola ye Jagozi, nga kigambibwa nti waliwo omukyala eyamusanze lubona ne mujwala we mu nnimiro nga basinda omukwano.

Ssentebbe we kyalo Peter Balikowa agambye nti muwala we gweyasinze naye omukwano, aliko obulemu.

Ssentebbe agambye nti omusajja ono bamuwaddeyo eri poliisi.