Amawulire
Owemyaka 30 avunaniddwa gwakubba omwana
Bya Ruth Anderah
Omukazi ow’emyaka 30 bamusindise ku alimanda, mu kkomera e Kigo ku bigambibwa nti yabba omwana.
Nabukeera Joan basomedde omusango gw’okuwamba omuntu mu kkooti ya LDC, naye nagwegaana.
Wabula oluvanyuma lw’okwegaana omusango omulamuzi amusindise mu kkomera e Kigo yebakayo okutukira ddala nga 17 March 2021 lwanakomezebwawo atandike okuwerenemba n’omusango ogumuvunanibwa.
Omwana agambibwa okubibwa yali wamyaka 2 n’ekitundu, nga nekigendererwa kyokubba omwana ono tekinategerekeka.
Kigambibwa Nabukeera omusango yaguzza mu January w’omwaka guno, mu Kampala.