Amawulire
Owemyaka 25 yetuze
Bya Abubaker Kirunda
Entiisa ebutikidde abatuuze ku kyalo Nabigwali mu gombolola ye Buyengo mu district ye Jinja, bwebagudde ku mulambo gwomusajja owemyaka 25.
Omugenzi ye Paul Gonanza nga kitegezeddwa nti mutabani wa Paul Kakubandulu, omutuuze ku kyalo kino.
Omusajja ono abadde abuze okumala ebbanga, nga bamuwenja buyiso, wabula olwaleero bagudde ku mulambo gwe nga gulengejjera ku muti gwa ffene, okulinaana essamba lyebikajjo.
Kati omuddumizi wa poliisi mu kitundu Joseph Joka agambye nti batandise okunonyereza, okuzuula ekyamusse.
Omulambo gutwaliddwa mu gwanika lye ddwaliro ekkulu e Jinja okwongera okwekebejjebwa.