Amawulire

Ow’emyaka 23 baamukubide mu kivvulu naafa

Ow’emyaka 23 baamukubide mu kivvulu naafa

Ivan Ssenabulya

March 23rd, 2022

No comments

Bya Barbra Nalweyiso

Poliisi mu disitulikiti ye Mubende etandise okunonyereza ku butemu obwakoleddwa ku Robert Munaneza owemyaka 23.

Omugenzi abadde mutuuze ku kyalo Kisolo-Kayana mu gombolola ye Madudu e Mubende.

Ono yafiridde mu ddwaliro ekkulu e Mubende gyebabadde bamudusizza okufuna obujanajabi oluvanyuma lwebisago ebyamutusiddwako.

Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu kitundu kya Wamala nga ye Racheal Kawala, omgenzi yagenda mu kivvulu kyabayimbi nga 16 March16 mu Kabuga ke Kaweri wabula nebafuna oluyombo ne Patrick Jidde owemyaka 18.

Kigambibwa omuvubuka ono yasikayo akambe mu kikooti kyeyali ayamabadde natandika okufumita munne

Poliisi egemba nti okunonyereza kugenda mu maaso.