Amawulire

Owemyaka 19 bamusanze asobya kuwemyaka 35

Owemyaka 19 bamusanze asobya kuwemyaka 35

Ivan Ssenabulya

August 2nd, 2018

No comments

Bya Shamim Nateebwa

Omuvubuka owemyaka 19 Leo Turyasingula, akwatiddwa  abasirikale abaabadde balawuna bwebamusanze lubona ng’alina omukazi  gw’asobyako mu kiro ekikesezza  olwaleero  ku ttaawo ku Northern bypass ku Kaleerwe.

Ono mutuuze mu Kibe zone mu muluka gwa makerere III e Kawempe ng’akola gwa kwetikka bitereke mu katale k’oku Kaleerwe.

Ate omukazi gweyabade asobyako wa 35, omutuuze mu Mayinja zone  ng’akola gwa kuweereza byakunywa mu katale ka Kizito ku Kaleerwe.

Turyasingula yasoose okukkirizza nti yakase omukazi omukwano oluvannyuma nategeeza nti omukazi bakkaazinyizza amuwe 4,000/- beesanyuseemu wabula yabadde talinamu za kupangisa loogi ne basalawo biggwere ku ttaawo.