Amawulire

Ow’emyaka 17 yetugidde mu muzigo mwebasula

Ow’emyaka 17 yetugidde mu muzigo mwebasula

Ivan Ssenabulya

January 17th, 2022

No comments

Bya Abubaker Kirunda

Entiisa ebutikidde abatuuze ku kyalo Kikunu mu tawuni kanso ye Idudi bwebagudde ku mulambo gwomwana owemyaka 17, nga gulengejja.

Omugenzi ye Ashraf Nanfula ngabadde mutabani wa Yahaya Nanfula ku kyalo Kikunu mu tawuni kanso ye Idudi, disitulikiti ye Bugweri.

Ssentebbe wekyalo kino Twah Kisambira agambye nti omwana ono yetugidde munda mu muzigo mwebapangisa.

Poliisi eyitiddwa okutandika okunonyereza, wabul abatuuze bagamba nti babadde tebawulira buzibu bwonna ku bantu banpo.