Amawulire

Owasikulapu asindikiddwa e Luzira

Owasikulapu asindikiddwa e Luzira

Ivan Ssenabulya

March 31st, 2023

No comments

Bya Ruth Anderah,

Omusajja omukunganya wa sikulapu avunanibwa nasindikibwa mu komera e Luzira ku misango gyobubbi.

Moses Kasimbi ow’emyaka 47 omutuuze w’e Nsangi mu disitulikiti y’e Wakiso yeeyanjudde mu kkooti y’e Buganda road wansi womulamuzi Fidelis Otwao n’awakanya omusango gw’okufuna ssente nga yeefudde obulimba ogumusomeddwa.

Oludda oluwaabi lugamba nti omuwawaabirwa n’abalala abakyalira kunsiko wakati wa 8th ne 9th September 2020 ku spear motors e Nakawa mu kibuga Kampala, bafuna obukadde bwa sillingi 39 okuva ewa Muyimba Emmanuel nga beefudde nti baali bagenda kumugulira mmotoka.

Ono alagiddwa okuddayo mu kkooti nga April 14th 2023 okwogera okuwulira omusango guno.