Amawulire

Ow’amasanyalaze y’abadde agabba

Ow’amasanyalaze y’abadde agabba

Ali Mivule

July 6th, 2015

No comments

 

File Photo: Abamasanyaze nga bagadabiriza

File Photo: Abamasanyaze nga bagadabiriza

Abakulira ekitongole kya masanyalaze ekya UMEME mu bendebendo lya Mityana bakutte omukozi waabwe lwakubba masanyalaze n’ayungako n’abantu abalala abasukka mu kkumi.

Akwatiddwa ategerekese nga Deo Seruyima ng’abadde akolera mu disitulikiti ye Mubende, akwatiddwa lubona ng’ayisa amasanyalaze  mu ttaka okuyuga ku batuuze wamu n’okwenyigira mu kubba tulansifooma y’okukitebe kya disitulikiti ye Mubende ssaako ne waya nga kati omwezi omulamba n’ekitundu ng’ekitebe tekilina masanyalaze n’abatuuze mu kitundu kino.

Abamu ku batuuze e Kaweeri balumiriza omukozi w’ekitongole kya UMEME Deo Seruyima okubba waya, n’okuyunga abantu ku masanyalaze mu bukyamu.

Addukanya amasanyalaze mu kitundu kya Mityana Moses Muhanguzi agambye nti ono asangiddwa lubona mu maka ge ng’abba amasanyalaze era ng’okumukwata kiddiridde abakulembeze ba disitulikiti n’abatuuze mu lukiiko olutudde ku kyaalo Kaweeri okumulumiriza nga bweyenyigira mu kutataaganya amasanyalaze g’ekitundu kino ng’akati akwasiddwa poliisi e Mubende okumunonyerezako.