Amawulire
Owa siniya y’okuna yali mukulu mu UNRA
Ekitongole ky’enguudo ekya UNRA olwaleero kitegerekese nti yawandiisa omuyizi wa siniya y’okuna okukulira ekiwayi ekigula ebintu e Jjinja
Ono ng’amaze okufuna omulimu olwo yaddayo n’afuna dipulooma.
Bino bitegeezeddwa akakiiko akanonyereza ku mivuyo mu kitongole kino era ng’omukyala ayogerwaako ye Harriet Nagadya.
Akakiiko akakulemberwa omulamuzi Catherine Bamugemereire agambye nti kyenyamiza okulaba nti abantu abatalina bukugu bafuna emirimu mu mankwetu nga tebafunye na kutendekebwa
Mu kwewoozaako ng’ali mu kakiiko, Nagadya agambye omulimu gwamuweebwa abaali abakulu mu UNRA okuli Peter Ssebanakitta ne Ssebugga Kimeze.