Amawulire
Owa NUP Nakwedde atutte Nantaba mu kooti
Bya Ivan Ssenabulya
Eyavuganya ku kifo ky’omubaka omukyala owa disitulikiti ye Kayunga ku kaadi ya National Unity Platform Harriet Nakwedde adukidde mu kooti enkulu e Mukono okuwakanya okulondebwa kwa Aidah Nantaba.
Okusinziira ku munnamateeka we, George Musisi okulonda kwalimu emivuyo mingi, omwali okubba obululu, n’okutisibwatisibwa okuva mu magye nebirala abingi ebitatekawo bwenkanya.
Kati ayagala okulonda kusazibwamu.
Akulira eby’okulonda e Kayunga Rashid Musinguzi, yalangirira Idah Nantaba ku buwanguzi n’obululu emitwalo 4 mu 2,725 nga Nakwedde yakwata ekifo kyakubiri n’obululu emitwalo 3 mu 7117.