Amawulire

Owa NUP eyatulugunyizibwa addukidde mu kooti

Owa NUP eyatulugunyizibwa addukidde mu kooti

Ivan Ssenabulya

February 8th, 2022

No comments

Bya Ruth Anderah

Omuwandiisi wekibiina kya NUP ku bukulembeze bwa disitulikiti ye Kasese, Samuel Busindi Masereka aadukidde mu kooti enkulu nawawabira, eyali ssenkulu wa CMI Maj Gen Abel Kandiho nabasirikale be abamutulugunya.

Masereka mutuuze we Nyamwamba East mu divizoni ye Nyamwamba e Kasese, nga muyizi wabusawo mu Mengo East Cook e Kampala.

Ono wetwogerera atambulira ku miggo ngalina nobuvune obwamaanyi, okuli amabwa ku mubiri, agamba nti abajaasi ba UPDF 3 bamujja mu kifo weyali nebamukwakkula okumuteeka mu mmotoka eyakazibwako erya Drone.

Bino byaliwo nga 7 January 2021 era baamutwala nebamuggalira ku poliisi ye Kilembe, oluvanyuma webamujja nga bamubise amaaso okumutwala mu kifo ekirala, kyeyategeera oluvanyuma nti ku CMI.

Masereka mu mpaaba ye agambye nti yatulgunyizibwa ebitalojjeka ngali ku CMI, nga bamukubanga bamubuuza ebikolebwa munda mu kibiina kya NUP.