Amawulire

Owa NRM e Soroti bamugobye mu palamenti

Owa NRM e Soroti bamugobye mu palamenti

Ali Mivule

July 25th, 2016

No comments

alasoKyandiba nga ababaka bangi bakyagobwa mu paalamenti olw’ensonga ezitali zimu.

Amakyagaleero kkooti ye Soroti egobye munna NRM Hellen Adoa mu palamenti lwakujingirira biwandiiko byabuyigirize okutiisatiisa abalonzi wamu n’okubba obululu.

 

Ssabawandiisi w’ekibiina kya FDC Alice Alaso yamuwawabira nga tamatidde byava mu kulonda okutuusa lw’amumezze.

 

Omulamuzi  Henrietta Wolayo agamba obujulizi obuleeteddwa bubadde bumala okulaga nti ddala waaliwo okubba obululu era n’alagira okulonda kuddibwemu.

 

Wabula Adoa naye aweze  okujulira.