Amawulire
Owa NRM bamusibye lwakunywa mwenge mu kafwu
Bya Derek Kisa
Eyakwatira ekibiina kya NRM bendera okuvuganya ku kifo kya ssentebbe owa LC3 mu Lugazi Central division, Micheal Kayongo nabanatu abalala 24 kooti emusindise ku alimanda mu kkomera lye Bugungu mu distulikiti ye Buikwe, lwa kunywa mwenge okusukka mu budde bwa curfew.
Kayongo owemyaka 42, nga y nanyini Pentagon bar e Lugazi yavunaniddwa olwokujemera ebiragiro bya gavumenti.
Abalala abebakutte ne Kayongo kuliko Milly Nabitibwa owemyaka 22, Mary Kashiringi 28, Maria Nakawunde 20, Yudaya Nsubuga 21, nabalala.
Bano basimbiddwa mu maaso gomulamuzi we dala erisooka mu kooti ento e Lugazi Stella Maris Amabirisi, abasomedde emisango wabula nebagyegaana.
Kati bakudda mu kooti nga 26 February omusango gwabwe gutandike okuwulirwa.