Amawulire
Owa Guinea awabudde bannayuganda
Omukulembeze w’eggwanga lya Equatorial Guinea nga ali kuno ku bugenyi obw’ennaku 2 Theodoro Obiang Nguema Mbasogo asabye abakulembeze ba Africa bonna okuteekawo amateeka agawaliriza ebitongole bya gavumenti byazo okugula byebakozesa nga bikoleddwa ku butaka.
Nga ayogerako eri bannamawulire mu maka ga Pulezidenti Entebbe, Pulezidenti Nguema agamba okugula buli kimu okuva ebweru w’eggwanga kikosa ebyenfuna by’amawanga ga Africa.
Wabula agamba enkola eno tesobola kuyitamu singa tewateekebwawo mateeka galungamya ku nsonga eno.
Ye kamukyaza pulezidenti Museveni y’akattirizza ekyabakulembeze ba Africa okukwatagana okuleetawo emirembe mu Africa.