Amawulire

Owa bodaboda attidwa.

Ivan Ssenabulya

May 16th, 2018

No comments

Bya Getrude Mutyaba.

 

Abatuuze be Mwota mu Lukaya town Council mu district ye Kalungu bali mu kutya olwa mutuuze munabwe okuttibwamu bukambwe.

Attiddwa abadde avuga boda boda nga ategeerekese nga Muzafaru Magembe owe myaka 28

Okusinziira ku  mukwanogwe Steven Kamya, omugenzi yakomye kulabwako saawa  nga eggulo nga talina piki piki ye wabula kyoka bagenze okumusanga nga attidwa.

Omwogezi wa poliisi mu greater Masaka Lameck Kigozi akakasizza okufa kwa Magembe