Amawulire

Oulanyaha yalongoosa enkolagana ya palamenti ne gavumenti

Oulanyaha yalongoosa enkolagana ya palamenti ne gavumenti

Ivan Ssenabulya

March 23rd, 2022

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Abadde aomukubiriza wa palamenti Jacob Oulanyah bamutenderezza olw’enkola yemirimu gye, nga bamwogeddeko nti abadde agezezaako okulongoosa enkolagana wakati wa gavumenti ne palamenti.

Mu kusooka waalingawo okusika omugwa wakati wessiga erifuzi ne palamenti, essiga eribaga amateeka naddala wansi wa Rebecca Kadaga.

Bwabadde ayogerako naffe, omubaka wamamabuka gegwanga Grace Freedom Kwincyincyw, agambye nti Oulanyah abadde asobodde okukikola.

Agambye nti abaddenga akola okwebuuza ku bakulembeze banne.