Amawulire

Oulanya bamuddusizza mu America okujanjabibwa

Oulanya bamuddusizza mu America okujanjabibwa

Ivan Ssenabulya

February 6th, 2022

No comments

Bya URN

Omukubiriza wa palamenti Jacob Oulanyah, kitegezeddwa nti bamddusizza mu gwanga lya America okufuna obujanjabi obwenjawulo.

Okusinziira kubomukutu gwa Uganda Radio Network, Oulanyah bamutikka ku nnyonyi mu budde bwokumakya ku Lwokuna nga 3 February 2022, nga yali yakasibulwa okuva mu ddwaliro ekkulu e Mulago.

Yagendera mu nnyonyi ya Uganda Airlines’ Airbus A330-800 neo okuva ku kisaawe Entebbe okutuuka mu Iceland, olugendo olwakulungula essaawa 10 ne dakiika 42.

Okusinziiraku yawadde amawulire gano, aba URN ku Lwokutaano Oulanya yasitudde era mu nnyonyi ya Uganda Airlines okuva mu kibuga Keflavik okwolekera Seattle mu America, ngolugendo luno lwakulungidde essaawa 7 ne dakiika 28.

Jacob Oulanya yasemba okulabwako mu palamenti nga 21 Decemba ku nkomerero yomwaka oguwedde 2021.

Kinajjukiwa nti Oulanya yabula ku maaso gabantu era omwaka oguwedde okumala omwezi mulamba, bweyali yakalayira e Kololo.