Amawulire

Onyangu anyuse omupiira gwa tiimu ye gwanga

Onyangu anyuse omupiira gwa tiimu ye gwanga

Ivan Ssenabulya

April 13th, 2021

No comments

Bya Lukeman Mutesasira

Kapiteeni wa tiimu y’egwanga the Uganda Cranes Denis Onyango anyuse omupiira ku tiimu y’egwanga.

Onyango yawandikidde ekibiina ekitwala omuzanyo gw’okupiira mu gwanga ekya FUFA ngabategeeza ku kusalwo kwe.

Kino wekijidde nga waliwo okusika omuguwa wakati wa pulezidenti wa FUFA Moses Magogo n’abasambi oluvanyuma lwa Magogo okutegeeza ngabasambi ba Uganda abazanya mu mpaka za Chan bwebasamba amajaani.

Kati Onyango afuuse omusambi ow’okubiri okunyuka omupiira gwe gwanga, ngeyasooka yali Hassan Wasswa.

Onyango yatandika okusambiira Cranes mu 2005.

Onyango ayambyeko Cranes okukiika mu mpaka za Afcon, mu 2017 nemu 2019.