Amawulire

Ongwen wa’kutandika okwewozaako mu gwo’munaana

Ivan Ssenabulya

May 29th, 2018

No comments

Bya Ruth Anderah

Eyali omudumizi wabayekera ba LRA Dominic Ongwen gwakuddamu ngomuvunanwa wakwewozaako mu August womwaka guno mu kooti yensi yonna mu kibuga Hague mu gwanga lya Netherlands.

Kino kikakasiddwa Dahirou Sant-Anna omukungu mu wofiis ya ssbawaaabi wa ICC.

Ono abadde ayogera ne banamwuire mu Kampala kungeri omusango gwa Ongwen gyegutambulamu okuva lwegwatandika mu January womwaka oguwedde 2017.

Sant-Anna ategezeza nti oludda oluwaabi lwataddeyo enkubira yaalwo mu April womwaka guno, ngabababadde nabajulizi 116 okwabadde nabatusibwako obulabe olwebikolobero bya Ongwen.

Kuno kwabaddeko abakazi 7 abagambibwa nti Ongwen yabakaka bamufumbirwe, abajaasi begye lye gwanga erya UPDF, abaaali abalwanyi ba LRA mu kibinja kya Ongwen, abaana abawambibwa nabalala.

Abamu ku bano bawadde obujulizi ku butambi atenga abamu balabikiddeko ddala mu kooti eno mu buliwo mu kibuga Hague.