Amawulire

Onebe agudwako omusango gwókutta mukyalawe

Onebe agudwako omusango gwókutta mukyalawe

Ivan Ssenabulya

September 21st, 2021

No comments

Bya Ruth Anderah,

Omubalirizi wébitabo Francis Onebe aguddwako omusango gwokutemula eyali mukyalawe

Immaculate Onebe era asindikibwa ku alimanda mu kkomera e Kitalya.

Onebe avunanibwa wamu ne Bonny Oriekot;omukuumi okuva mu kampuni Pentagon Security Company, ekulirwa Onebe.

Bano tebakkiriziddwa kubaawo kyebogera mu kkooti e Makindye oluvanyuma lwomulamuzi aguli mitambo Sarah Ann Basemera okutegeeza nti omusango gwe bazza gwa nnagomola guwulirwa mu kkooti nkulu.

Wabula abawadde amagezi okusaba okweyimirirwa mu kkooti enkulu

Oludda oluwabai nga lukulembedwamu Lydia Nakato lugambye nti poliisi ekyakola okunonyereza ku musango guno mu butemu obwaliwo mu January omwaka guno , onebe bweyatta mukyalawe omulambo nagusuula mu septic tank poliisi gyeyaguzuudde mu ssabiiti 3 eziyise mu makage e Munyonyo mu Kampala district.

Ngomulambo gwe tegunazuulwa, Onebe yali yekubira enduulu nga mukyalawe bweyamubulako nasaba yekka ayinza okuba nga yamuwamba okumuza oba mulamu oba mufu